Obutuukirivu kye ki?
Obutuukirivu butuufu okulabirira Katonda, obutaba na musango na kusalirwa musango.
Tekitegeeza butabeera na kibi, kubanga « Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu »(Engero 24:16), era ne Baibuli etugamba nti « Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe. »(1 Yokaana 1:8)
Mu butuufu, kasita tuba n’omubiri guno, omubiri guno ogufa, tusobola okugwa mu kibi.
Naye ffe (abakkirizza Yesu ne tumusembeza mu bulamu bwaffe nga Kabaka era omulokozi waffe) Katonda atutegeera nti tuli batuukirivu mu Yesu-Kristo.
« Obujeemu bw’omuntu omu bwafuula abangi okuba aboonoonyi. Bwe butyo n’obuwulize bw’omuntu omu Yesu, bulifuula bangi okuba abatuukirivu. »(Abaruumi 5:19)
Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza « tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo, bera olw’okukkiriza mu Kristo tufunye ekisa kya Katonda mwe tubeera… »(Abaruumi 5:1-2)
Kyokka si lwa kuba nti tuli wansi w’ekisa kyokka kye tukkirizibwa okukola ebibi(Soma Abaruumi 6:15).
Bwe tugwa mu kibi, tulina okusituka ne twatula ekibi kyaffe, okusobola okuzzaawo enkolagana yaffe entuufu ne Katonda.
ESSAALA:
Mukama Katonda waffe, tuyambe bulijjo tusituka ne twatula ekibi kyaffe buli lwe tugwa mu kibi.
Mu linnya ly’omwana wo Yesu Kristo ery’omuwendo mwe tusaba.
Amiina.
THE LION OF JUDAH MINISTRY IN THE WORLD©
thelionofjudahmission@gmail.com
☏: +250730900900
KIGALI – RWANDA