Ddala tufukamira Katonda mu bwesimbu?
Wano waliwo ebika bina eby’okufukamira amaviivi:
1. Okufukamira kw’emibiri gwaffe
« Amaviivi gange ganafuye olw’okusiiba; omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa. »(Zabuli 109:24)
Bwe tufukamira amaviivi, omubiri gwaffe gwonna guyimirira mu maaso ga Katonda, kino abantu ne Katonda bakiraba.
2. Okufukamira kw’emitima gyaffe
« Kubanga omutima gw’abantu bano gwesibye, n’amatu gaabwe tegawulira bulungi. N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu, wadde omutima gwabwe okutegeera, ne bakyuka ne mbawonya.’ »(Matayo 13:15)
Omutima gwaffe bwe guba mujeemu, omubiri gwaffe gusobola okubeera ku maviivi nga omutima gwaffe teguliiwo.
3. Okufukamira kw’okwagala kwaffe
« Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula ky’oyagala kye kiba kikolebwa. »(Lukka 22:42)
Tufukamira emibiri gyaffe n’emitima gyaffe mu maaso ga Katonda, naye olw’obutagumiikiriza, tuleka ebyaffe okukulembeza ebya Katonda.
Bwe tunaamwesiga, okwagala kwe okutuukiridde kujja kufuuka kwaffe.
4. Okufukamira kw’ebirowoozo byaffe
« Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna. »(Matayo 22:37)
Singa ebirowoozo byaffe bifukamira Katonda, kiraga nti twagala Katonda.
“Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge; tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.”(Zabuli 95:6)
OKUSALA:
Mukama Katonda waffe, tuwe okufukamira amaviivi gaffe gonna mu maaso go mu bwesimbu.
Mu linnya ly’omwana wo Yesu Kristo ery’omuwendo mwe tusaba, Amiina.
THE LION OF JUDAH MINISTRY IN THE WORLD©
thelionofjudahmission@gmail.com
☏: +250730900900
KIGALI – RWANDA