TUKOZESE OBUSOBOOZI BUTWEDDWA !

Yesu Kristo teyasabira balwadde, abalema n’abafu, yakozesa amaanyi ge, yawonya abalwadde n’abalema ye kennyini; n’abafu ye kennyini n’abazuukiza.
Oluvannyuma lw’okukola ebyamagero bingi, n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, n’abalagira ku mizimu emibi, okugigoba ebweru, n’okuwonya endwadde zonna n’obunafu obwa buli ngeri.
« Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa. »(Matayo 10:1,8)

Bwe busobozi obwo abayigirizwa be bwe baakozesa oluvannyuma lwa Yesu okudda mu ggulu.
Gwe maanyi naffe ge twafuna nga tukkiriza Yesu nga Mukama waffe era Omulokozi waffe.
Kyokka ne we tulina amaanyi gano, tetusobola kugakozesa nga tetulina kukkiriza.
Yesu yagamba nti tujja kukola ebyamagero singa tuba n’okukkiriza.
« Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera. »(Lukka 17:6)
Era n’agamba nti:
« Bw’oba n’okukkiriza n’otobuusabuusa… Oyinza n’okulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo. »(Matayo 21:21)

Kale tubeere n’okukkiriza okusobola okukozesa amaanyi gano agatuweebwa olw’ekisa kya Katonda.

OKUSALA:
Mukama Katonda waffe, tuwe okukkiriza tukozese amaanyi g’otuwadde.
Mu linnya ly’omwana wo Yesu Kristo ery’omuwendo mwe tusaba, Amiina.

THE LION OF JUDAH MINISTRY IN THE WORLD©
thelionofjudahmission@gmail.com
☏: +250730900900
KIGALI – RWANDA

Laisser un commentaire

Votre adresse e-mail ne sera pas publiée. Les champs obligatoires sont indiqués avec *