OKWEMANYA KWAFFE

Ebyawandiikibwa birina bingi bye byogera ku nsonga y’okwetegeera.

2Abakkolinso 13:5 egamba nti:
« Mwekebere mulabe obanga muli mu kukkiriza; oba temumanyi nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozi nga temukakasibbwa. »

Dawudi yali akimanyi bulungi nti Katonda ye yali afuga obulamu bwe, era yalina okukkiriza nti Katonda yali ajja kumununula mu kabi akaali kagenda okujja(1Samuel 17:37).
Eyo ye nsonga lwaki teyatya Goliyaasi.
Bwe tuba nga tukimanyi nti Yesu Kristo ali mu ffe, tetulina kye tutya.
Pawulo bwe yali ayigganya Abakristaayo, Yesu yamugamba nti: “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?”
Sawulo n’abuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?”
Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gw’oyigganya!”(Ebikolwa by’Abatume 9:4-5)
Yesu teyagamba nti, « Lwaki muyigganya abakristu abo oba abantu bange? », yagamba « Nze Yesu gw’oyigganya! » kubanga bw’okwata ku mwana wa Katonda, okwata ku Yesu yennyini.
Tukimanye nti Kristo mu ffe era nti abalumba oba abatulwanyisa aba alumba ou alwanyisa Yesu yennyini okuva lwe twafuuka abaana ba Katonda.

OKUSALA:
Katonda waffe ow’olubeerera, tuwe tubeere bamanyi nti tukuumibwa kubanga Yesu ali mu ffe.
Mu linnya ly’omwana wo Yesu Kristo ery’omuwendo mwe tusaba, Amiina.

THE LION OF JUDAH MINISTRY IN THE WORLD©
thelionofjudahmission@gmail.com
☏: +250730900900
KIGALI – RWANDA

Laisser un commentaire

Votre adresse e-mail ne sera pas publiée. Les champs obligatoires sont indiqués avec *